Kazibwe Israel Kitooke Profile
Kazibwe Israel Kitooke

@KazibweIsrael

Followers
551
Following
395
Statuses
203

Minisita w'Amawulire, Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka.

Joined September 2023
Don't wanna be here? Send us removal request.
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
13 hours
Happy #WorldRadioDay!🎙️ We celebrated it at Ndejje University Kampala Campus, recognizing radio’s vital role in education & awareness. With pressing environmental issues, I urge journalists to amplify these conversations. Let's use radio to drive change! #MediaForChange"
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
0
0
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
3 days
Obwakabaka busabye abakola omudumu gw'amafuta oguva e Hoima okutuuka e Tanga mu Tanzania okulaba nga enteekateeka zonna ziyamba okukulaakulanya Bannansi ate nga tebikosa butondebwansi. Bino bibadde mu nsisinkano n'abekitongole ki EACOP abakyadde Embuga leero
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
1
13
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
9 days
Twebaza abantu ab'enjawulo abakola omulimu ogw'amaanyi ddala mu kutumbula ebyemizannyo mu Buganda Ebyemizannyo bikulu nnyo wano mu Buganda olw'engeri gye ebiyamba mu kukunga abantu okubeera obumu, okuwummuza ebirowoozo ate n'okuvaamu ensimbi.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
0
0
1
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
12 days
RT @BugandaOfficial: Tulina ensonga eziwerako okwenyumiriza n'okujaganya olw'emyaka 70 egya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. #KabakaMutebi
0
73
0
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
14 days
Amazaalibwa ga Kabaka waffe Ronald Muwenda Mutebi II ag'emyaka 70: Olukiiko oluteesiteesi lutongozeddwa era enteekateeka z'okujaguza zigenda kwanjulwa essaawa yonna. #KabakaMutebiAt70 | #KabakaWange
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
4
8
37
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
21 days
Nkulisa abayizi abatikiddwa leero ku Buganda Royal Institute. Tubaagaliza ebiseera ebirungi mu kisaawe ky'emirimu, mukozese obukugu bwemufunye mukole eby'amaanyi mu Nsi eno.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
1
15
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
22 days
Nkulisa muwala wange Ndagire Sonia Ssengonzi olw'okufuna diguli ku Ssetendekero e Makerere. Tukubiriza bonna abatikiddwa okukulembeza okwetandikirawo emirimu nga mukozesa obuyiiya n'obukugu bwe mufunye mu kutendekebwa.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
5
2
35
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
24 days
Mu kwongera okuzimba ebiseera by'omumaaso eby'Eggwanga ebitangaavu, Obwakabaka bwongedde okussa essira ku nkuza y'abaana. Leero Obwakabaka bwanjudde oluteesiteesi lw'omukolo gw'olunaku lw'abaana 2025.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
0
2
19
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
24 days
Obwakabaka leero bwanjudde entebya ya Luwalo lwaffe omwaka 2024 Twebaza nnyo abantu ba Buganda olw'okuwagira emirimu gya Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
0
2
17
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
26 days
Nkiikiridde Katikkiro mu lumbe lwa Hon. Kato Lubwama, mu bubaka bwe yantisse, atenderezza omugenzi engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe, okweggya mu mbeera eyawansi ne yesitula ate n'akwata ne ku bulamu bw'abantu abalala Tukubiriza omusika okukuuma omumuli gw'omugenzi.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
6
37
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
27 days
RT @cpmayiga: Ab'enju y'omugenzi Canon James Lutaaya Ddungu eyamanyibwa ennyo nga 'Kyapambalaasi' bankyaliddeko leero. Nsanyuse okulaba ng…
0
14
0
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
1 month
Eggulo twetabye ku kivvulu kya @SpiceDianaUg nga Kabaka bwe yatulagira okutumbula ebitone n'okuwagira bannabitone. Bannabitone tubasaba kwongera kutambulira mu mbeera etabatyoboola wadde okuswaza omulimu gwammwe. #10YearsOfSpiceDiana
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
0
4
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
1 month
Abayizi okuva ku Kabojja International School bakyaddeko Embuga olwaleero okwongera okumanya ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwa Buganda Katikkiro wano w'asabidde abasomesa n'abazadde okuwa abaana omukisa okuyiga obuwangwa obw'enjawulo mu Uganda kibayambe bbo ate n'Eggwanga.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
3
37
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
1 month
Spice Diana agenyiwaddeko Embuga olwaleero nga yetegekera ekkivulu kye ku Lwokutaano luno ku Serena Hotel. Nkunga abantu ba Buganda okubaayo okumuwagira ku lunaku olwo anti akuwa naawe gwowa, munnaffe ono tutambula naye mu nsonga ez'enjawulo kale tubeeyo #Buganda2025
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
1
4
29
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
1 month
Nkulisa munywanyi wange Simon Ssenkaayi agatiddwa mu bufumbo n'omwagalwa we Rose Sylvia Nakafu mu Lutikko e Namirembe leero. Tubaagaliza obufumbo obulungi obujjudde essanyu n'emirembe. Katonda abawe omukisa.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
0
4
19
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
1 month
The Rotary International President @Stephanie_urchk today visited the Kingdom headquarters at Bulange Mengo. #Buganda2024
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
0
1
11
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
1 month
Twebaza Katonda olw'obulamu bwatuwadde, leero ngasseeko omwaka omulala 💐. Mbeebaza mwenna bwetutambudde olugendo lw'obulamu bwange, Katonda mwatukoledde eby'ekisa omuli n'okusiimibwa Ssaabasajja Kabaka okumuweereza mu Gavumenti ye. Ayi Katonda Yongera okutubeera 🙏
Tweet media one
12
10
103
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
2 months
Tubayozaayoza okutuuka ku lunaku luno, era tubaagaliza okusanyuka n'okunyimirwa n'aboomumaka gammwe. #MerryChristmas
Tweet media one
0
2
16
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
2 months
Ssaabasajja Kabaka Asiimye n'atuweereza obubaka bw'Amazaalibwa ga Yesu Kristo. Nnyinimu atukuutidde omwaka omuggya 2025 gubeere gwa kwebuulirira n'okwefumiitiriza ku kirungi n'ekibi. #ObubakaBwaKabaka
Tweet media one
Tweet media two
3
17
138
@KazibweIsrael
Kazibwe Israel Kitooke
2 months
Emirimu gya Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka nga giwumuddemu mu butongole, eno tunywezeza ensonga ya dduyiro, okukuuma emibiri nga gikola bulungi n'okunyweza oluganda. Ebiseera by'ennaku z'eggandaalo tubikozese okwewummuzzamu obulungi n'okwebbulula.
Tweet media one
3
3
29