BugandaOfficial Profile Banner
Buganda Kingdom Profile
Buganda Kingdom

@BugandaOfficial

Followers
160K
Following
7K
Statuses
12K

This is the Official Account of the Kingdom of Buganda.

Lubiri, Mengo
Joined January 2015
Don't wanna be here? Send us removal request.
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
17 hours
Omulimu gw'okuzzaawo Amasiro g'e Kasubi gutuuse ku mitendera egisembayo, Ssaabasajja musiimu n'omulimu ogukoleddwa. Okuddaabiriza kabuyonjo, oluggya omusimbwa e motoka, okuyunga amasannyalaze mu buli kanyomero, okumaliriza ennyumba z'Abazaana, bye bimu ku bisigadde okutereezebwa olwo omulimu gw'okugaddaabiriza guggyibweko engalo. Bw'abadde alambula omulimu guno ne Baminisita ba Kabaka ssaako abakiise mu lukiiko lwa Buganda naddala abatuula ku kakiiko k'ebyobuwangwa n'ennono, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti ebisembayo mu kuyoyota ennyumba byetaaga bwegendereza era omulimu okujjibwako engalo gulina okuba nga guwedde bulungi.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
2
10
78
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
19 hours
Omukolo gw'olunaku lw'abaana mu Buganda gugenda mu maaso mu Lubiri e Mengo. Olunaku lw'abaana mu Buganda lujaguzibwa ku mulamwa: Eddoboozi ly'Abaana lya mugaso mu nkulaakulana ya Buganda ey'enkya. #AbaanaMuBuganda #KabakaMutebiAt70
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
1
3
22
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
19 hours
Omukolo gw'olunaku lw'abaana mu Buganda gugenda mu maaso mu Lubiri e Mengo. Olunaku lw'abaana mu Buganda lujaguzibwa ku mulamwa: Eddoboozi ly'Abaana lya mugaso mu nkulaakulana ya Buganda ey'enkya. #AbaanaMuBuganda #KabakaMutebiAt70
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
3
12
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
19 hours
Omukolo gw'olunaku lw'abaana mu Buganda gugenda mu maaso mu Lubiri e Mengo. Olunaku lw'abaana mu Buganda lujaguzibwa ku mulamwa: Eddoboozi ly'Abaana lya mugaso mu nkulaakulana ya Buganda ey'enkya. #AbaanaMuBuganda #KabakaMutebiAt70
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
2
12
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
20 hours
Ekiriwo kati; Katikkiro, Minisita w’Obuwangwa n’ennono, abakiise ku kakiiko k'olukiiko ak'obuwangwa n'ennono, batandise okulambula Amasiro g'e Kasubi okwekenneenya n'okulondoola omulimu gw'okugaddaabiriza wegutuuse.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
7
10
102
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
1 day
Minisita Joseph Kawuki asabye ab'e Gomba okulonda abakulembeze abategeera enkola ya Federo Buganda gye yayanira. Oweek Kawuki okwogera bino abadde atongoza oluzzi lwa Nayikondo olwasimiddwa aba Wells of Life nga bayita mu mukago gwebatta n'Obwakabaka ku kyalo Kalwanga mu ggombolola Ssaabagabo Kabulasoke. Minisita Kawuki agamba nti Ssaabasajja Kabaka okuvaayo n'asimira abantube enzizi kabonero akalaga federo ey'ebikolwa egendereddwamu okutumbula embeera n'obulamu bw'abantu. Wabula abakuutidde okubaako ebintu bye bakola baleme kusirika busirisi naddala ku beefunyiridde okuvvoola Nnamulondo, nti batwale omutawana ogw'okubaatulira era babalemese okuggusa enteekateeka zaabwe ezirengezza Nnamulondo. Akubirizza abantu b'e Kalwanga okukuuma obulungi oluzzi olubaweereddwa luleme kwonoonebwa abantu ab'ekyejo. E Gomba enzizi bbiri zezatongozeddwa mu ggombolola Ssaabagabo Kabulasoke, nga obuwagizi bwonna buvudde mu bantu ba Kabaka abawangaalira mu America nga bayita mu ttabamiruka wabwe owa Buganda Bumu North American Convention.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
0
4
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
1 day
Enteekateeka zonna ez'okukuza Olunaku lw'Abaana mu Buganda enkya ziwedde nga Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagenda okubera Omugenyi omukulu ku mukolo ogutegekeddwa mu Lubiri e Mmengo. Minisita w'Ekikula ky'Abantu Oweek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo ategezeeza nga Minisitule wefunye abaana okuva mu masaza ga Buganda 18 nga bano bagenda kuleeta ensonga ezibakwatako bimanyibwe. Olunaku luno lugenda kukuzibwa wansi w'omulamwa "Eddoobozi ly'abaana lya mugaso mu nkulaakulaana ya Buganda ey'enkya"
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
0
8
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
2 days
RT @Gambuuze_: Katikkiro @cpmayiga: Ssente eziva mu mafuta ziteekeddwa kukulaakulanya bantu Ebisingawo 👇 https:/…
0
2
0
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
2 days
"Obwakabaka buwagira omulimu gw'okusima amafuta n'okuzimba omudumu ogugatambuza, kyokka ssente ezivaamu zirina okugasa abantu obutereevu mu byenjigiriza, ebyobulamu n'enkulaakulana ng'enguudo okutumbula obusuubuzi n'amakolero. Enteekateeka zino era tezirina kukosa butondebwansi." Katikkiro Charles Peter Mayiga asibiridde aba East African Crude Oil Pipeline abali ku ddimu ly'okuzimba omudumu gw'amafuta oguva e Hoima okutuuka e Tanga mu Tanzania.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
3
19
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
2 days
Ssaabasajja Kabaka asimidde ab'e Gomba enzizi z'amazzi amayonjo. Enzizi zino zisimiddwa mu ggombolola Ssaabagabo Kabulasoke okusinziira ku bwetaavu obwaliwo mu kitundu kino. Oluzzi olwa 917 lusimiddwa ku kyalo Nanjwenge mu Ggombolola Ssaabagabo Kabulasoke era lutongozeddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki nga awerekedwako Oweek Hajji Amisi Kakomo Minisita w'Obulimi Obulunzi obuvubi n'obwegassi, ne Ssenkulu wa BUCADEF. Minisita Joseph Kawuki, ategeezezza nti mu ssemasonga ey'okuna mulimu ennyingo y'okukola obutaweera egenderera okutumbula embeera z'abantu era muno Ssaabasajja Kabaka mwayise nasoosowaza eby'obulamu, eby'enjigiriza n'ebyenfuna, obwenkanya, okulambika abantu ku bukulembeze, okulwanyisa endwadde nga abantu balina amazzi amayonjo ageyagaza n'Abaana baleme kutambula ngendo mpanvu nga banoonya amazzi. Asabye abantu okulwanirira Ssaabasajja Kabaka, baleme kukkiriza muntu yenna kumusimuuliza ttoomi ku bwakabaka n'Abaami ba Kabaka, nti bwebanaakola ekyo bajja kuba basasudde Kabaka olw'ebirungi byabakoledde.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
3
14
106
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
2 days
Obwakabaka enkya ya leero bukyaziza aba East African Crude Oil Pipeline abazze okwanjula enteekateeka y'okutambuza omudumu gw'amafuta okuva e Bunyoro okudda e Tanzania. Ensisinkano etunulidde butya kino bwe kinaalokebwa awatali kukosa buwangwa, butondebwansi, n'obutakosa bantu bawangaalira mu bitundu ebinaayisibwamu omudumu guno.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
5
14
114
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
2 days
Bannassingo mmwe mulidde empanga anti olusiisira lw'ebyobulamu mu nteekateeka ya #TubeereBalamu luzze bwammwe awo ku kisaawe ky'Essaza. Tegeeza n'omulala okubaawo okukeberebwa n'okufuna obujjanjabi ku bwerere. #KabakaMutebiAt70 #KabakaWange
Tweet media one
2
13
71
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
3 days
Netball UK; Omumbejja Katrina Sarah Ssangalyambogo, akyaddeko mu nkambi y'abazannyi ba She Cranes mu Bungereza n'abayozayoza okuwangula omudaali ogw'ekikomo mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup mu Bungereza. Uganda yawangudde Malawi obugoba 50-45.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
13
39
386
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
4 days
RT @BugandaOfficial: Luuluno Olunaku lw'Abaana mu Buganda 2025: Tugenda kubeera mu Lubiri e Mengo ku Lwokusatu lwa ssabbiiti ejja nga 12/02…
0
21
0
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
5 days
Abafunye ku ssente muwandiike ebitabo mumanyise abalala olugendo lwammwe olw'enkulaakulana kibongere okukola ennyo. Katikkiro Ebigambo bino byogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo gw'okutongoza ekitabo "Mutaasa Kafeero, His Journey and Family History of the Abajungute ", e kyawandiikibwa Oweek Hajji Mutaasa Kafeero atwala e Ssaza lye Kigezi mu Ankole. Asabye abagagga n'Abantu abafunye ku nsimbi bafube okuwandiika ebitabo balage abantu olugendo lwabwe n'engeri gyebaatandikamu okufuna ebirowoozo eby'enkulaakulana olwo bayigirize, basomese ate bakuume n'ebyo bye bakoze.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
0
7
28
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
5 days
Hajj Sseguya yaliko omukiise mu lukiiko lwa Buganda era n'aweereza ku bukiiko obw'enjawulo, yaliko Ssentebe w'omuzikiti gw'e Kibuli era yali musaale nnyo mu kutandikibwawo kw'eddwaaliro ly'e Kibuli. Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Owek. Hajj. Ahmed Lwasa, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, Owek. Hajj Amiisi Kakomo, Abakungu b'ebitongole by'Obwakabaka eby'enjawulo, wabaddewo ba masheikh ab'enjawulo n'abantu abalala.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
0
2
14
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
5 days
Ekiriwo kati; Katikkiro n'Omukyala, Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita ba Kabaka okuki, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek Noah Kiyimba, Oweek Ssaalongo Robert Sserwanga, Oweek Anthony Wamala, Oweek Joseph Kawuki, Omutaka Mugema, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, n'Abakungu ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, batuuse ku kyalo Nakwero, okwetaba ku mukolo ogw'okwebaza Katonda n'okutongoza ekitabo ekyawandiikibwa Oweek. Hajji Mutaasa Kafeero.
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
4
13
127
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
6 days
Katikkiro @cpmayiga akubirizza Abakristu okuwagira emirimu gya Ekelezia baleme kugirekera basaseredooti bokka. Abadde asisinkanye abakulembera Abakristu b'e Lweza. Ebisingawo 👉
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
Tweet media four
2
4
37
@BugandaOfficial
Buganda Kingdom
6 days
Enkya ya leero Abakulembeze okuva mu kigo ky'Abakristu e Lweza bakyadde Embuga okusisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga okwogera ku nsonga ezitali zimu. Bano bakulembeddwamu Ssaabakristu w'ekigo Omw. William Nsimbe
Tweet media one
Tweet media two
Tweet media three
2
7
79